Ezekiel 31:8-9

8 aEmivule egyali mu nnimiro ya Katonda
tegyayinza kuguvuganya,
newaakubadde emiberoosi okwenkana
n’amatabi gaagwo amanene;
n’emyalamooni nga tegifaanana
matabi gaagwo amatono,
so nga tewali muti mu nnimiro ya Katonda
ogugwenkana mu bulungi.
9 bNagulungiya n’amatabi amangi,
emiti gyonna egy’omu Adeni
egyali mu nnimiro ya Katonda
ne gigukwatirwa obuggya.
Copyright information for LugEEEE